
Olwaleero lwegiweze emyaka esatu okuva omusumba w’essaza lye Masaka Serverus Jjumba atuuzibwa ng’omwepisikoopi w’essaza eryo.
Omusumba Jjumba yatikkirwa era n’akwasibwa essaza lye Masaka okulikulembera, ennaku z’omwezi zaali 07 July, 2019 ku mukolo ogwayindira ku lutikko e Kitovu.
Omusumba Jjumba yajja n’omulamwa ogw’okutuukiriza obuweereza bwe, nga gutambulira ku musingi gw’okubunyisa Evangiri esimbye ku musaalaba gwa Kristu omukomerere.
Omulamwa omulala gwakutumbula eby’obulimi n’obulunzi ebigenderera okutaasa obutonde bwensi.
Okusinziira ku Rev.Fr.James Ssendege akulira emirimu gy’obuweereza mu ssaza lye Masaka, emiramwa gy’omusumba Serverus Jjumba bagitambuliddeko bulungi ng’essira liteekeddwa ku kutuuka obutereevu ku bantu bonna.
Omusumba Serverus Jjumba yadda mu bigere by’omugenzi Bishop John Baptist Kaggwa, eyali awumudde emirimu gy’obusumba.
Bishop Kaggwa yava mu bulamu bw’ensi eno nga wakayita omwaka gumu gwokka ng’awumudde naafa ekirwadde kya Covid 19.