
Abantu basatu bafiiridde mu kabenje ka Bus akagudde ku luguudo oluva e Mbale okwolekera Soroti mu kiro ekikeesezza olwa leero, n’abalala 35 baduusiddwa mu ddwaliro nga bapooca n’ebisago.
Bus bbiri zitomereganye bwenyi ku bwenyi, kubaddeko Isuzu namba UAR 293/M eya kampuni ya Wanagon Coaches ne Nissan UAH 781/Z eya kampuni ya Gateway Bus services.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Kachumbala mu district ye Bukedea,Bus ya Gateway ebadde eva e Soroti etomereganye ne ginaayo ebadde eva e Mbale.
Kigambibwa nti omugoba wa Bus ya Gate Way yaviiriddeko akabenje kano okubaawo, bwabadde agezaako okuyisiza mu kkoona, kyokka eno gyasanze Bus ya Wanagon naagitomera.
Ayogerera poliisi y’ebidduka mu ggwanga Faridah Nampiima, ategeezezza nti omugoba wa Bus ya Gateway adduseera nga batandise okumuyigga.
Omugoba wa Bus ya Wanagon ategeerekeseeko erya Rashid addusiddwa mu ddwaliro e Mbale wamu n’abasaabaze abalala okufuna obujjanjabi.
Bakaawonawo abalala naddala abakutuse amagulu batwaliddwa mu ddwaliro lya Kumi Orthopedic centre.